Ebyobusika mu Busiraamu icon

Ebyobusika mu Busiraamu

CoreSolutions80
Free
10+ downloads

About Ebyobusika mu Busiraamu

EBYANJULA
Amatendo amajjuvu gonna ga Katonda eyatonda
obulamu n’okufa n’awa abantu ebyobugagga ebyenjawulo era n’agera nti byakugendanga bikyusa
emikono okutuusa Ye lw’alibyeddiza. Okusaasira
n’emirembe bibeere ku Nnabbi waffe Muhammadi
eyannyonnyola eddiini n’alagirira engeri amateeka
gye galina okugobererwamu nga mwe muli n’agookugabanya ebyobugagga omufu by’aba alese.
Ekigendererwa mu yirimu y’ebyobusika, kwe
kumanya abo abalina okugabana ku bintu omufu
by’aba alese n’engeri buli omu gy’agabanamu. Yirimu eno nkulu nnyo wadde nga abantu bagitwala
okuba emu ku zisinga obuzibu n’obutategeerekeka.
Ensonga egifuula enzibu kwe kuba nga tejjumbirwa
nnyo, ate nga mulimu okubala wadde nga kutonotono. Engeri y’okussa emiwendo ku byobugagga
ebyenjawulo nayo ereetamu okusoomooza, okwo
kw’ossa basseeka be kikwatako obutalaga bantu
migaso egigirimu n’obukulu bwayo.

Ebyobusika mu Busiraamu Screenshots