Okuddamu Eyabuuza icon

Okuddamu Eyabuuza

CoreSolutions80
Free
10+ downloads

About Okuddamu Eyabuuza

Ntandika okuwandiika ekitabo kino n‟erinnya
lya Katonda Omusaasizi ennyo, Omusaasizi olubeerera. Amatendo amajjuvu gonna ga Katonda. Nsaba
Katonda okusaasira kwe n‟emirembe abisse ku
Mubaka we, wamu n‟abenju ye ne Baswahaba be,
na buli yenna amufuula munywanyl we.
Ebyo nga biwedde:
Ensi yaffe nsi ya Bwannabbi. Bannabbi mwe
baasibuka ne baleetera abantu Obubaka okuva eri
Katonda, abantu baffe ne babeera nga mwe muva
abasomesa, olwo amawanga amalala ne gagoberera.
Ekyo kyali bwe kityo kubanga obugunjufu obuzimbiddwa ku Bukkiriza bwasibuka mu nsi yaffe,
ebiseera we twabeerera nga ffe ggwanga erisinga
amalala agaaliwo obulungi.
Bwe tutunuulira ekyatuuka ku mwoyo gw‟omuntu ne kigusigamu okubuusabuusa, okutya, obweraliikirivu, okubulubuuta, n‟okubula, tukisanga nga
yali nsigo mbi eyamera n‟evaamu etti ebbi ekkolimire. Ensigo eyo embi bwe Butakkiriza, ate etti ebbi
ne liba nga kwe kubula.
Bwo Obukkiriza ye nsigo ennungi emeza omuti
omulungi, ogulina emirandira emigumu mu ttaka
xii
nga ate n‟arnatabi gaagwo geewuubira mu bbanga.
Bwe butyo Obukkiriza ne buba nga kye kifo ekituufu ekituukana n‟endaba ennuŋŋamu omuntu
omwenkamunkamu gy‟ateekwa okuba nayo; ate
Obutakkiriza ne buba nga kwe kuwuguka.
Naye bulijjo obugayaavu bw‟abantu abali ku
mazima, n‟okugasirikira bye bireeta obubuze okweyongera mu nsi. Era ekivudde mu by‟obutakkiriza
nti Katonda gyali, kwe kubonaabona, okudaaga,
okweraliikirira, obutatereera mu mitima, n‟ebizibu
by‟okuwuubaala omuntu by‟afuna nga agezaako
okunoonya emirembe n‟okutereera mu birowoozo.
Bbo abaagezaako okutereeza, baanoonya engeri
y‟okuvumulamu ebizibu bino kyokka eddagala baalisanga mu bubaka obwamazima Bannabbi bwe bajja
nabwo bwokka. Obubaka buno bwe buyinza okujjanjaba ebiwundu abantu bye balina n‟ebizibu ebibatawaanya ebiseera bino byonna.
Wadde nga twasigala mabega mu bya tekinologiya n‟amakolero, omugabo tulina munene mu
biryowa emyoyo n‟eddiini; kuba ebyo we bitali
tewaba bugunjufu obwannamaddala. Sso nga era
tewali nsi n‟emu eyali erokeddemu Obukkiriza obuva
eri Katonda okwenkana ensi yaffe

Okuddamu Eyabuuza Screenshots