OKUSAALA N’OKUSABA MU BUSIRAAM icon

OKUSAALA N’OKUSABA MU BUSIRAAM

CoreSolutions80
Free
50+ downloads

About OKUSAALA N’OKUSABA MU BUSIRAAM

Esswala mu Busiraamu kusinza, okukolebwa mu ngeri eyenjawulo mu biseera ebigere. Mubeeramu ebigambo
ebirina okwogerwa mu Luwalabu nga etteeka. Esswala etandika na kwasanguza nti “Allaahu akbar” (Katonda munene
ali wala wa buli kinene) n‟efundikirwa ne Salaamu nti:
“Assalaamu alaikum warahmatu Llaahi (Emirembe gibabeereko n‟okusaasira kwa Katonda)”.
Esswala eno kye kintu Katonda kye yasooka okulaalika Abakkiriza (nga amaze okulangirira nga bw‟ali Omu
atalina kimwegattako era nti ne Muhammadi Mubaka we).
Esswala kabonero ak‟enkukunala akaawula Omusiraamu ku atali Musiraamu. Asanga omuntu nga asaala, amusanze ne bw‟ataba Musiraamu amanya bumanya nti
gw‟asanze Musiraamu kye kimu amusanze mu Bulaaya,
ku Lukalu lwa Asia, mu Africa oba mu mawanga amalala.
Ebirala okugeza ennyambala, okukomola, oyinza n‟okubisanga mu mawanga n‟ebyobuwangwa by‟abantu abalala.
Okugeza, bw‟ogenda mu Bulaaya mu biseera eby‟obutiti
oyinza obutayawula bakyala Basiraamu na batali Basiraamu, sso nga mu bitundu nga Sudan, amawanga g‟Abawalabu, e Mombasa, n‟abakyala abatali Basiraamu ebiwanvu babyambala ne basiba ne ku mitwe nga bali nga
abambadde hijaabu

OKUSAALA N’OKUSABA MU BUSIRAAM Screenshots