Obuyonjo bukulu nnyo mu bulamu bw‟omuntu:
bukuuma omubiri nga mulamu ne butangira n‟endwadde ezitali zimu ne bukendeeza, oluusi n‟okusaanyaawo, obuwuka obwalibadde bulumba omubiri. Eno ye
nsonga Obusiraamu kwe bwava okkubiriza obuyonjo
obw‟omubiri, engoye, ekifo, n‟obwomwoyo. Obusiraamu era bw‟alifuula tteeka okwetukuza mu ngeri eyenjawulo nga emikolo gy‟eddiini egimu teginnakolebwa.
Awamu n‟obukulu bw‟obuyonjo, Abasiraamu bangi abatabutwala nga ekikulu era nga tebafaayo kubujjumbira na kubujjumbiza bantu baabwe, sso nga gumu
ku misingi egy‟Obukkiriza era ekimu ku bintu Nnabbi
bye yakubiriza Abakkiriza n‟okubajjumbiza.
Obutafaayo buno butera kuva ku butamanya oba
butatwala buvunaanyizibwa kuyiga Busiraamu nga bangi beekwasa obutaba na biseera bimala kuddamu kwetegereza ddiini yaabwe. Abamu balowooza nti ekiseera
ky‟okuyiga eddiini kyabayitako, n‟abalala ne beekwasa
bakadde baabwe abataabasomesa ddiini. Ekisesa kwe
kuba nga ebintu bingi ddala abazadde bye bataayigiriza
bantu bano naye nga baafuna engeri bbo gye baabyeyigirizaamu. Bazadde baffe si beebatuyigiriza okukozesa amasimu, okuvuga mmotoka, okusoma amawulire
n‟ebintu ebirala ebiwera bye tukola.

Show More